Amawulire

Ettemu: Omusajja asse mukazi ngamulanga bwenzi

Ettemu: Omusajja asse mukazi ngamulanga bwenzi

Ivan Ssenabulya

March 9th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Entiisa ebutikidde abatuuze be Sembabule, omusajja bwakakanye ku mukyala we namutema namutta ngamulanga obwenzi.

Bino bibadde ku kyalo Lulembo-Kiviviri mu gombolola ye Katwe e Sembabule, nga kyadiridde omusajja ono okusanga mukyala we owempeta lubona mu bwenzi.

Aberabiddeko bategezezza nga Muhamad Mugalula omutuuze we Kyazanga e Lwengo era bweyabadde agezaako nokutema omuisguze, wabula neyemulula nadduka.

Kati obusungu bwonna yabumlidde ku kabiite we Mariam Nakyazi namutema namutta, nga kitegezeddwa nti omukazi omusajja abade yamusanga mu ssabo gyeyali agenze okumusawula.

Omwogezi w poliisi mu kitundu kino Muhamad Nsubuga akakasizza ettemu lino, era nategeeza nga Mugalula bwebamaze okumukwata.

Nsubuga era agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *