Amawulire

Ettemu mu kampala

Ali Mivule

October 21st, 2013

No comments

ssenkumbi 2

Poliisi etandise okubuuliriza ku ttemu eryabadde e mutungo mu kiro ekikesezza olunaku lwaleero

Abasajja abatannaba kutegeerekeka ababadde babagalidde emmundu bakubye amasasi owa Bodaboda n;afiirawo olwo nebakuulita ne piki ye

Omugenzi ategerekeseeko lya Junior nga bamusanze atudde ku lubalaza lw’edduuka lya mukwano gwe erisangibwa mu zone 3 e Mutungo.

Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, ibin Ssenkumbi agamba nti bamaze okuyimbula basajja baabwe abakuba ku nnyama okugenda mu kifo kino okunonyereza.

Mu ngeri yeemu yye omukuumi ku ssomero lya Kireka High school asangiddwa nga mufu wajjo

John Twagira kigambibwa okuba ng’afumitiddwa biso olw’ebiwundu by’abadde nabyo ku bulago

Ate e Masaka ne Mityana, abantu babiri nabo emirambo gyaabwe gisnagiddwa ku kkubo nga battiddwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *