Amawulire

Ettemu lizeemu e Rakai
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu district ye Rakai etandise okunonyereza kungeri omusajja gyeyatiddwamu, omulambo gwe nebagusuula mu lusaalu.
Entiisa eno ebadde ku kyalo Kibale mu gombolola ye Byakabanda
e Rakai abatmanya ngamba bwebatemudde Matthias
Kabagambe owemyaka 40.
Okusinziira ku batuuze ono basemba kumulaba mu katawuni, ku lunaku Lwomukaaga, era babadde mu kutya okwamanyi ate bwebamusanze nga mufu wa jjo.
Omwogezi wa poliisi mu district ezikola obwagagavu bwe Masaka Paul Kangave akakasizza bino, nategeeza nti omulambo gwe gusangiddwa nga baaguzinze mu bulangiti, wabula nategeeza nti bagujjeeyo negutwalibwa mu gwanika okwongera okwekebejebwa ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.