Amawulire
Etteeka ku kuwumula kwa bamaama nga bazadde
Bya Moses Ndaye, Gavumenti eri munteekateeka z’okuleeta amateeka amapya ku kuwumula kwa bakayala nga bazadde okulaba nga ba maama bayonseza ddala abaana baabwe.
Minisita omubeezi ow’ebyobulamu ebisookerwako Dr. Moriku Joyce Kaducu ategezezza nga gavumenti bwegenda okukolagana n’abakulebezze ku mitendera egy’awansi okulaba nga ba maama bayoosa abaana baabwe nga bwe kyetagisa.
Dokita Kaducu ategezezza nga ba maama banji olumala okuzaala basuulawo abaana baabwe awatali nakumala nnaku 90 ezibaweebwa.
Ono ategezeza ng’ekyaba maama obutayonsa baana bwe kivirideko abaana banji okukoziba mu ggwanga lino.
Kati ategezezza nga abakulembezze kumitendera egy’awansi bakuweebwa olukussa okubagaawo amateeka okulaba nga ba maama bayonsa abaana baabwe.