Amawulire

Entekateeka zamattikira ga Kabaka aga 28 zigenda mu maaso

Entekateeka zamattikira ga Kabaka aga 28 zigenda mu maaso

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Entekateeka zigenda mu maaso, ezamattikira ga Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11, ag’omulundi ogwa 28.

Olukiiko olutekateeka amattikira gano, olw’e Buddu lukwataganye n’olukiiko olwa waggulu olukulemberwa Omumyuka wa Kattikiro ow’Okubiri era minisita webyensimbi Owek Robert Waggwa Nsibirwa.

Babakanye nomulimu gw’okukola oluguudo olugenda ku Lubiri e Nkoni era omulimu gutambula kinawadda.

Okusinziira ku minisita wamawulire nabagenyi mu bwakabaka bwa Buganda Owek Noah Kiyimba, kino kyakoleddwa okusobozesa Empologoma okuyita mu luguudo luno obulungi n’okwanguyiza abagenyi abagenda okuluyitamu okutuuka mu Lubiri.

Amattikira gaakuberawo nga 31 ku nkomerereo yomwezi guno, ng agenda kuvugira ku mubala ‘Obuwangwa n’ennono, entabiro y’enkulaakulana’

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *