Amawulire

Entekateeka za Eid ziri waggulu

Entekateeka za Eid ziri waggulu

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Entekateeka zokujaguza Eid-al-Adha eyaomwaka guno, eri abayisiraamu ziri mu ggiya nenne.

Eno ye Eid ey’okusadaala ebisolo okujjukira ekikolwa ekyobwetowaze eri Katonda, Ibraham bweyalaga obumalirivu okusadaaka omwana we Ishmail.

Muno muberamu ebijjulo nokugabana ebirabo mu bantu ba famile, naabo abali mu bwetaavu.

Kati amyuka omukubiriza wa palamenti Anita Among aliko embuzi nomuceere byawadde ababaka abasiraamu nabakozi ba palamenti, bategekera okujaguza Eid eno, ku lunnaku Lwokubiri wiiki ejja.

Enkata eno ajitisse omubaka omukyala owe Zombo era kamisona wa palamenti, Esther Afoyochan okujituusa eri ababaka.

Eid al-Adha eberawo ku lunnaku olwekkumi 10 mu mwezi gwa Dhu al-Hijjah ku kalenda y’obusiraamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *