Amawulire

Entekateeka ku mazaalibwa gómutanda efulumye

Entekateeka ku mazaalibwa gómutanda efulumye

Ivan Ssenabulya

April 1st, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Obwakabaka bwa Buganda bufulumiza enteekateeka entongole egenda okugobererwa wakati mukuteekateeka emikolo gy’amazalibwa g’empologoma eg’emyaka 66 ag’okuberawo nga 13 omwezi guno ogw’okuuna mu Lubiri e Mengo.

Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka amazalibwa gano era nga ye minister w’ebyobulamu, ebyenjigiri, office ya Nabagereka n’ekikula ky’abantu, Owek Prosperous Nankindu Kavuma, yafulumiza enteekateeka eno mu kulungana lwa bannamawulire olutudde ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo.

Olunaku olw’enkya wagenda kuberawo okusabira ssabasajja mu ddiini y’obuyisiramu mu mizikiti gyonna, ku lw’omukaaga okusaba kwa kubeera mu ba seventh day, ku Sunday mu bakulirisitaayo, abakatuliki, aba Authodox nabalokole.

Owek Nankindu Kavumba akinoganyiza nti entekateeka y’ebikijjuko bya mazalibwa gano etekedwamu emisomo ku bulwadde bwa mukenenya nga bakozesa ebyooto n’ekigendererwa ky’okwongera okutuusa obubaka bw’omutanda obwa mukenenya ku bantu be.

Emikolo egy’amazalibwa egy’okuntiko gya kwetabwako abagennyi bokka abayite okwetangira COVID 19.