Amawulire

Enteekateeka ku mazaalibwa ga Kabaka age 66 zikwajja

Enteekateeka ku mazaalibwa ga Kabaka age 66 zikwajja

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2021

No comments

Bya Shamim Nateebwa,

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atongoza olukiiko lwa bantu 5 olugenda okukulemberamu okuteekateeka amazalibwa ga Ssabasajja Kabaka ag’omulundi ogwa 66 ag’okukuzibwa nga 13 Kafuumulampawu omwaka guno.

Olukiiko olutongozedwa lukulirwa Owek Prosperous Nankindu Kavuma, amyukibwa Owek Hajji Hamis Kakomo, omuwandiisi ye Josephine Nantege Ssemanda ate Owek Dr Richard Kabanda ne ssetebe wa bavubuka ba Buganda omugya Ssejjengo Baker bamemba ku lukiiko luno.

Katikkiro mu lukungana lwa banamawulire lwatuziza mu bimuli bya Bulange e Mengo, akakasiza nti Ssabasajja Kabaka asiimye amazalibwage gatambulire ku mulamwa ogw’okulwanisa mukenenya mu bavubuka, era omulamwa gugamba nti Abavubuka mubeere basaale mu kulwanisa mukenenya.

Katikkiro Charles Peter Mayiga era ayanjudde enteekateeka za mirundi 4 ezigenda okutambulizibwako amazalibwa gano omuli n’emisinde mu bunabyaalo egigenda okukulemberamu amazalibwa gano.

Ssentebe w’olukiiko olulondedwa okukulemberamu okuteekateeka amazalibwa gano, Owek Nankindu Kavuma, agambye nti ye nabantu abalondedwa bagenda kukola ekisoboka okuteekateeka amazalibwa agaweesa Obuganda ekitibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *