Amawulire

Entalo z’ebisolo n’abantu zeeyongedde

Entalo z’ebisolo n’abantu zeeyongedde

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ekitongole ekirera obutonde bwomu ttale, Uganda Wildlife Authority (UWA) kitegezezza nti obukubagano wakati wabantu nobutonde bomu ttale, bweyongedde 50%.

Bwabadde ayogerera mu lukiiko olutudde olwabakwatibwako mu Kampala kungeri yokussa mu nkola etteeka eppya erya Community Conservation Policy 2019, ssenkulu wa UWA, Sam Mwondha agambye nti emisango 4,257 gyebafuna mu 2019 nga waliwo okweyongera bwogerageranya nemisango 2,833 gyebafuna mu mwaka ogwali gwayita.

Mwondha kino akitadde kungeri abantu gyebongedde okwesembereza ebifo omukumirwa ebisolo byomu nsiko.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *