Amawulire

Entalo mu Owino tezinaggwa

Ali Mivule

July 17th, 2013

No comments

Owino Market

Sentebe w’akatale ka owino Geoffrey Kayongo wakunonyerezebwako ku bigambibwa nti yalagira abasuubuzi abamuwakanya okukubwa, n’okuwa aba police enguzi .

Bino by’ebimu ebiri mu alipoota y’akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwa president akatekebwaawo okunonyereza ku mivuyo egiri mu katale ka S.t Balikudembe abangi ke bayita owino.

Akakiiko kano era kakizudde nga police bw’erimu kyekubira mu kugonjoola endoliito ‘zobukulembeze bw’akatale kano .

Mu birala ebiri mu alipoota  eno , akakiiko kaagala ministry y’eby’ettaka efulumye ekyapa kimu ku polot zonna eziri mu katale kano okusobozesa ekitongole kya KCCA okugaba liizi y’akatale kano.

Bbo abasubuzi basanyufu olw’alipoota eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *