Amawulire

Ensolo erumbye ebyalo netta embuzi n’endiga

Ensolo erumbye ebyalo netta embuzi n’endiga

Ivan Ssenabulya

October 15th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Abatuuze ku byalo ebiri mu gombolola ye Lwebitakuli ne Nakasenyi mu district ye Ssembabule, bali mu kutya oluvanyuma lwokulumbibwa ensolo etanategerekeka.

Ebyalo ebisnze okukosebwa kuliko Kabale, Nakasenyi, Lwebitakuli nebiralala ebyetoloddewo.

Okusinziira ku ssentebbe we kyalo Kabale Elias Mawanda ekisolo kino kyabatanategeera buungi kyavudde mu ttale okubaliumba, nga kati kitta embuzi, endiga nebisolo byabwe biralala.

Agambye nti olunnaku lwe ggulo kyalumbye eddundiro lya Charles Turyahimbisa nekirya embuzi ze 7 nekirumba newomutuuze omulala Mukasa Kanyehamba nekitta embuzi 10 ate mu kiro kimu.

Kati ssentebbe wa district ye Sembabule Dr Elly Muhumuza agambye nti ensonga eno bajiroopye eri ekitongole bekirera obuonde bwomu ttale.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *