Amawulire

Ensawo y’ebye’ttaka bagenda kujitonderawo akawunti

Ensawo y’ebye’ttaka bagenda kujitonderawo akawunti

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abakulu mu minisitule yebyensimbi bakanyizza okutondawo, akawunti eyetongodde okunutala ensimbu ez’ensawo y’ebye ttaka oba Land Fund.

Kino kyadiridde ababaka ku kakiiko ka palamenti akenjawulo, akatekbwawo okunonyereza ku ttaka okukunya akulira ebyemabalirira mu minisitule yebyensimbi Kenneth Mugambe ng akabadde kakubirizibwa omubaka we’ Kaberamaido Veroica Eragu.

Ono bamutadde ku nninga okunonyola lwaki ensawo eno yakom mu bigambo nayenga tekola, na lwaki tebagiterawo akwunta eyetongodde.

Land Fund nsawo eyatondebwawo, mu tteeka lyettaka erya Land Act, 1998, ngetekeddwa ku kukola ku mirimu gyokugulir abatuuze ettaka, okubayambako okulifunako obwannanyini oba nokuliyirira bebagaobaganyizza, wabula nokutuusa kati eyogerwako bwogerwa naye teri ajisongako nti yeeno ensawo yettaka.

Ababaka balaze okutya kungeri aba minisitule gyebabadde bakutemu ensawo eno, ssente zaayo okuzigatta mu nsawo endala.

Wabula Mugambe asubizza nokweyma, nti mu mwaka gwebyensibi ogujja egenda kutandika okukola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *