Amawulire

Ennamula ejudde ku musango gwa Bobi ya wiiki eno

Ennamula ejudde ku musango gwa Bobi ya wiiki eno

Ivan Ssenabulya

March 17th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Abalamuzi ba kooti ensukulumu 9, nga bakulembeddwamu Ssabalamuzi we gwanga Alfonse Owiny-Dollo wiiki eno baakuwa ensonga zaabwe, zebesigamako okukiriza akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, okujjayo omuwasngo gwebyokulonda.

Kitegezeddwa nti ennamula eno yakuweebwa ku lunnaku olwokuna, ssi lwaleero nga bwekyasoose okulagibwa.

Mu musango guno Kyagulanyi yali yawawabira Yoweri Museveni owa NRM, akakiiko kebyokulonda ne gavumenti olwokubba obululu, ngawakanya ebyava mu kulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January 2021.

Kati mu nnamula enzijuvu, baakusalawo obanga Kyagulanyi anasasula abasigadde ebisale ebyasasanyizibwa mu musngo guno.

Bananamateeka ba Kyagulanyi, abaakulemberwamu Medard Lubega Sseggona basaba kooti ebakirize bajjeyo omusango nga tebababinise bisale, songa enjuuyi endala basaba nti Kyagulanyi abasasule ebisale byebasasanya mu musango guno, ogwali gugenda okutandika okuwulirwa.

Mungeri yeemu kooti ensukulumu, era ejja kuwa ennamula mu bujjuvu ku musango gwa munnamateeka Hassan Male Mabirizi, Ssabalamuzi mweyaganira okuva mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu.

Mabirizi yaddukira mu kooti eno, ngayagala Ssabalamuzi ave mu musango gwa Kyagulanyi, ngamulumiriza obwa kyekubiira olwenkolagana eyomunda ennyo gyalina nomukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni.

Ssabalamuzi Alfonso Owinyi Dollo, yagaana okuva mu musango guno, ngolwaleero agenda kuwa ennamula mu bujjuvu, nokuwa ensonga zeyesigamako.