Amawulire

Enkungana za 4GC ziwereddwa

Ali Mivule

June 14th, 2013

No comments

Lord-mayor-Lukwago

Enkungana zabanakisinde kya 4GC zonna ziwereddwa mu kibuga.

Aduumira police mu Kampala nemiriraano Andrew Kawesi ategeezezza banamawulira nga banakisinde kino nga bakulembeddwamu lord Mayor Erias Lukwago, bwebakuba enkungaana ezigendereddwamu okusiga obukyaayi nokwawulayawula mubantu ekintu kyebatayinza kugumiikiriza.

Kawesi agamba akabinja kano kazzenga kanyoomola ekifo kyomukulembeze weggwanga, okukolokota akulira ekibuga Jeniffer Musisi, nebakansala 17 abaagala okujja obwesige mu Lord Mayor.

Kaweesi awadde ekyokulabirako kyenkungaana ze baakuba e Kasubi, Munaku ne  Mulago nategeeza  ababaka omwaali Muwanga Kvumbi, Betty Nambooze and Semujju Nganda  bwe baayogera baayogera ebigambo byakalebule.

Kawesi agamba bakyakungaanaya bujulizi noluvanyuma bayite bano sekinoomu beeyanjule babitebye ebyo byebaayogera.