Amawulire

Enkulungo ya Nantawetwa ekwasiddwa Buganda

Ali Mivule

October 30th, 2015

No comments

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority kikwasizza Obuganda enkulungo ya Nantawetwa eri obwakabaka bwa Buganda.

Ng’awaayo enkulungo eno, akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi agambye nti omulimu gwa Nantawetwa ono n’oluguudo lwa kabakanjagala gumazeewo obukadde 169.

Ensimbi eziwerera ddala 209 zeezasondebwa aba KCCA, abantu sekinoomu n’aba kkampuni ya UAP.

Musisi agambye nti bamaze okuwandiikira abakola ku byobulambuzi mu bwa kabaka okulaba kyebayinza okussaamu ensimbi ezisigadde.

Musisi wabula aabye abataka okukunga bazzukulu baabwe okugula amayinja g’kussa wakati w’enkulungo esobole okulabika obulungi nga yye awaddeyo emitwalo 80 ku w’ekika ky’omusu mw’ava.

Ku mukolo guno, Katikkiro wa Buganda owek Charles Peter Mayiga asiimye KCCA olw’omulimu gw’ekoze n’ategeeza nti Buganda yakusigala ng’ekolagana nabo mu kukulakulanya Buganda ne Kampala okutwaliza awamu.

Asiimye ne KCCA olw’okukola oluguudo lwa kabaka njagala olutemagana mu kadde kano.