Amawulire

Enkuba ekosezza abayizi-ebgezo bikereeye

Enkuba ekosezza abayizi-ebgezo bikereeye

Ali Mivule

November 2nd, 2015

No comments

File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo bye kyo musanvu

File Photo: Abayizi nga bakoola ebigeezo bye kyo musanvu

Ng’abayizi abasinga bakedde kukola bigezo, e Soroti ku ssomero lya Pioneer Primary School abayizi bakedde kugogola kifo webakoledde ebigezo

Ekizimbe abayizi mwebabadde balina okukolera ebigezo kikubyeeko amazzi olw’enkuba eyasuze etonnya.

Akulira essomero lino John Evans Omuut Otim,  agambye nti ebizimbe ebisinga bikadde nnyo nga bitonnya era enkuba buli lw’etonnya gujabagira

Essomero lya Pioneer Primary School lyelimu ku masomero agazimbibwa abayindi mu mwaka gwa 1940 era nga bakadde ddala

Ate mu disitulikiti ye Mbale ebintu tebinabaamu bizibu yonna.

E Mbale ku masomeroi agatali gamu nga Grace Primary School,Nkokonjeru primary school, Tower Primary school,ne  North Road tewabaddeewo buzibu buli awo.

Abayizi mpozzi abamu batuuse kukereezi nga banaabwe bamaze okutandika okusinziira ku mwogezi wa poliisi erudda eyo Diana Nandawula.

Ate e Mbarara abasibe 17 beebamu ku bayizi abasoba mu mutwalo abatudde ebigezo bya leero.

Abasibe bano bavudde Kakiika ne Mbarara centra;l prison nga ku bano basatu babadde bawala.

Wabula awamu wabaddewo ebizibu ng’ebigezo bibadde tebimala bayizi ekireseewo okukereewa

Atwala ebyenjigiriza mu disitulikiti eno Gabriel Ahimbisibwe agambye nti abayizi abasoba mu 6000 beebatuulidde mu masomero ga gavumenti ate agasigadde ga bwannanyini.