Amawulire

Enkuba e Sironko, enguudo ziguddemu

Ali Mivule

October 29th, 2013

No comments

bridge

District ye Sironko esalise ku ndala ezigiriraanye olw’amataba agatasalako

Entindo ssatu ezidda e Mbale tezikyasobola kukozesebwa motoka nga kati kwetoloola ate ng’amakubo mabi mazibu.

Olumu ku ntindo ezaaguddemu lwazimbibwa omwezi gumu emabega nga luno lubadde lusinga kuyamba basuubuzi abatambuza ebya maguzi byaabwe okubituusa mu kibuga kye Mbale.

Omubaka omukyala ow’ekitundu kino, Famiar Wadada asabye ekitongole ekikola ku by’enguudo okutema empenda ez’okutereeza embeera ng’ekizimba tekinnasamba ddagala

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *