Amawulire

Enkambi y’ebyobulamu

Ali Mivule

September 5th, 2013

No comments

Full woman

Enkambi abantu mwebanayita okumanya ebikwata ku bulamu bwaabwe yakubaawo ku lw’omukaaga luno.

Enkambi eno amanyiddwa nga Full Woman health camp ku luno essira yakulissa ku bya ndya bya baana n’abakyala abali embuto.

Omukungu mu Monitor publications, Jackie Tahakanizibwa agamba nti enkambi eno egenda okubeerawo omulundi ogw’okutaano, yakukozesebwa abakyala ,abaami n’abaana okumanya ebisingawo ku bulamu bwaabwe ate ku bwereere.

Wagenda kubaawo n’abakugu abagenda okukebera endwadde nga puleesa ne sukaali ku bwereere.

Enkambi eno egenda kubeera ku Serena hotel mu kampala.