Amawulire

Enkalala ezaali zaabula zirabise

Enkalala ezaali zaabula zirabise

Ali Mivule

October 22nd, 2015

No comments

File Photo: Owa Nrm ngalaga enkalala zekibiina

File Photo: Owa Nrm ngalaga enkalala zekibiina

Kyaddaaki poliisi ye Kalungu ezudde enkalala z’ekibiina kya NRM ezigambibwa okuba nti zabibwa kuva mu ofiisi ya NRM.

Enkalala zino 3 zisangiddwa mu maka ga Daniel Sejjoba’ ku kyalo  Kiwesa mu disitulikiti ye Kalungu.

Enkalala ezizuliddwa zibadde za kyalo kye Kansamba, Muwomya ne Kasenyi.Ku mande poliisi yakutte  Kristopher Mulindwa nga ono muwandiisi wa kibiina ssaako  Daniel Sejjoba kansala w’ekituindu.

Ababiri bano bavunanibwa kubba nkalala zino n’ekigendererwa eky’okuziwa eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi

Okunonyereza okwasoose kwalaze nga Mulindwa ne Ssejoba bwebekobaana nebayingira ofiisi z’ekibiina ku gombolola nebabbamu enkalala zino.

Aduumira poliisi ye Kalungu Abudulatif Zzake agamba oluvanyuma lw’okumala ennaku mu kaduukulu  Ssejoba y’akkirizza okubba enkalala zino n’azikweka mu makage.