Amawulire

Endagaano yo’kutambuza ebyamaguzi ekoleddwa

Ivan Ssenabulya

March 21st, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses

Abakulembeze bamawanga ga Africa emisana ga leero batadde omukono ku ndagaano gyebatuumye Kigali declaration etekawo ebyobusubuzi awatali akauba ku Mukono, ngegwanga lya Niger, lyelisoose okutekako omukono.

Endagaano eno etukiddwako mu kibuga kya Rwanda ekikulu Kigali oluvanyuma ttabameruka gwebabaddemu okumala ennaku 3.

Omukulembeze we gwanga lya Rwanda President, Paul Kagame ategezeza nti guno tegubadde mukolo ogwabulijjo okukola endagaano wabula nga kubadde kusala mpenda ku wa olukalo lwa Africa gyerulaga mu biseera ebyomu maaso.

Kagame alaze obukulu bwokutambuza ebymaaguzi kyere mu Africa yonna.

Agambye nti okusinga tekigenda kugasa mawanga gokka, wabula abasuzi nabalimi bakuganyulwa.