Amawulire

Emyaka ena bukyanga kwekalakaasa kubuutikira Obuganda

Ali Mivule

September 11th, 2013

No comments

Buganda riots

Olwaleero lwegiweze emyaka ena bukynaga kwekalakaasa okwabuutukira ebitundu bya Buganda kubeerawo.

Okwekalakaasa kuno kwava ku gavumenti okukugira omutanda okukyala mu ssaza lye erye Bugerere.

Abantu 27 beebafiira mu kwekalakaasa kuno.

Ababaka mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga bbo omulanga gwaabwe guli gumu nti alipoota eyakolebwa ku kwekalakaasa kuno efulumizibwe.

Omubaka akiikirira abantu be kibuga kye Masaka, Mathius Mpuuga agamba nti kikyaamu okubeera nga negyebuli kati tewali kyaali kifulumiziddwa ate ng’omusaayi gwayiika.

Mpuuga agamba nti Bugnada yetaaga okumanya abakulemberamu akavuyo kano era babonerezebwa.

Yo mengo ng’eyita mu mwogezi waayo nayo yasabye dda nti alipoota ku kwekalakaasa kuno efulumizibwe

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *