Amawulire

Emisaala gy’abakozi ba gavumenti gikaaye

Ali Mivule

July 24th, 2013

No comments

Matia Kasaija

Emisaala mu bakozi ba gavumenti gikutte wansi ne waggulu.

Ng’abasomesa n’aba poliisi bakaaba , n’ababaka mu palamenti tebafunye gwaabwe

Bano bulijjo basasulwa nga 15 kyokka nga leero 24 tebalina kyebalaabye

Minister omubeezi akola ku nsonga z’ebyensimbi, Matia Kasaija agamba nti wabaddewo okulwaamu kyokka nga kino kibaddewo mwezi guno gwokka

Abasomesa abatannafuna musaala gwaabwe ssibakusomesa.

Bino byebimu ku bintu abasomesa byebasazeewo okukola mu Lukiiko olwategekeddwa ekibiina ekigatta abasomesa.

Ssabawandiisi w’abasomesa bano, James Tweheyo agamb nti okuva olunaku lwa bbalaza teri kusomesa.

Ono era azzeemu n’akinogaanya nga bwebagaala owkongezebwa omusaala n’ebitundu 20 ku kikumi era nga ssi bakusomesa lusoma lujja ssinga tebongezebwa

 

Asabye gavumenti okusitukiramu okukola ku nosnga zaabwe okwewala obwediimo.