Amawulire

Emirambo 8 gyinyuluddwa mu Nnyanja Mwittanzige
Bya Musasi waffe
Emirambo 8 okuli negyabaana 2 gyejinyuluddwa mu nnyanja, song abanatu abalala 16 tebakubikako kimunye.
Kino kyadirirdde eryato kwebabadde batambulira, ku nnyanja Muttanzige okugwamu, mu distulikiti ye Buliisa.
Abantu 21 bebatasibwa oluvanyuma lwakabenje kano.
Special police constable Rogers Businge, nga yakolanga akulembera ekyalo Kitahura awaali akabenje kano agambye nti abantu 45 awamu bebaali ku lyato lino.
Abamu ku basimattuka bali mu ddwaliro ekkulu e Buliisa.