Amawulire

Emilimu gisanyaladde mu kibuga

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

watercannons

Police efuuyidde amazzi agabalagala okugumbulula abawagizi beyali senkagale wa FDC ne lord mayor wa kamapala SER abeesozze ekizimbe ekimu ku luguudo lwa luwum street.

Besigye Ne Lukwago bagenze kusisisnkanamu munamateeeka waabwe Radislas RWakafuuzi ku musango ogubavunaanibwa ogwokukuba olukungaana mungeri emenya amateeka.

Besigye ategeezeza nga bweyeewunyizza enyo ekikolwa kya police kino

Police ezze egiberera Besigye okuva mu makage paka mu kibuga nga emuziyiza okubaaka waayimirira kyegamba nti yandileeta akachankalano mu kibuga.

Ne lord maya SEL naye yeewunyizza ensonga eno

Lwo olugoodo lwa Luwum Street lwonna lugaddwa nga naasuubuzi abali okumpi  naddala abokukizimbe kya MM plaza ne Universala house amaduuka gaabwe bagagadde.