Amawulire

Embalirira ya 2019-2020 esomeddwa

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2019

No comments

File Photo: Matia kasaija nga genda okusoma embalirila ye gwanga

Bya Prossy Kisakye, Ben Jumbe, Damali Mukhaye, Olw’aleero Minisita w’eby’ensimbi Matia Kasaija, lw’asomye embalirira  y’omwaka gw’ebyensimbi ogwa 2019/2020 nga ya busse 41.

Embalirira eno esomedwa yayisibwa dda Palamenti nga May 24, 2019 era nga buli ekirimu kyakkanyizibwako dda.

Nga ekikoledwa kwanjulira eggwanga ebintu ebisuubirwa okusibwa mu nkola okutandika nga July 1, 2019.

Ebitundu 75 ku buli 100 zisuubirwa kuva mu misolo egikunganyizibwa mu ggwanga ate ebitundu 25 ku 100 zive mu bagabi b’obuyambi n’okwewola mu mawanga g’ebweru.

Minisitule y’eby’enguudo yetutte omutemwa ogusinga obunene nga aweereddwa obwesedde 6. n’obuwumbi 4

Eby’okwerinda biweereddwa obwesedde 3 n’obuwumbi 6 nga by’ebitundu 9 ku 100 era nga ye minisitule eyakutte eky’okubiri.

Minisitule y’ebyenjigiriza eri mu kyakusatu Ebyenjigiriza obwesedde 3. N’obuwumbi 2

Mu kusoma emablirira eno omukulembezze wa kuno Yoweri Museveni alabudde abantu abanoona ebintu bya gavumenti.

Mu kwogerako eri egwanag ku mukolo gwo kusoma embalirira ye ggwanga wali kuwoteeri ya Serena mu Kampala omukulembeze ategezeza nga bwebali ab’okweyambissa kamera ezateredwa mu bifo eby’enjawulo okulaba nga bonna ebenyigiira muzze guno bakwattibwa.

Ono agaseeko nga oluvanyuma lw’okukwatiibwa bakuliwa bye bononye kyagambye nti kyekigenda n’okolebwa ku bonoona enguddo.

Mungeri yemu omukulembeze awagidde eky’omugezi eyali ssabaminister w’eggwanga Apollo Nsibambi okulonda muwala we okumusikiira,bwategezezza nga bwekiba nga kiretaawo enkulakulana tekirina buzibu kusikiza mwana muwala nasaba ebyobuwangwa okugenda ne nkyukakyuka.

Embalirira esomedwa olw’aleero gavumenti eyongezza omusolo ku mafuuta ge taala ne nnusu 200,buto 200shs,omwenge ogusengejedwa kubibala ebyawaano guteredwako nnusu  950shs, (chibuku) beer 230shs.

Ebikozesebwa kunsusu omuli ebizigo ,kalifuuwa biteredwako omusolo gwa bitundu 10%, ng’ojjeko ebyo ebikozesebwa bannamagoye, ensawo ya sukaali omusolo gwa bitundu 120%,  airtime 20%, OTT  200shs, chocolate omusolo gwa bitundu 20%, okukozessa ATM okujaayo ssente n’ebisaale by’omwezi biretedwako omusolo gwa bitundu 10%.

Sabuni anaaba ayongezedwa omusolo gwa bitundu 35%, bulangiti ziriko omusolo gwa 35%, obusenya omusolo gwa bitundu 60%, ebitabo 60%, engano ebitundu 10%, ebikokoma ebizungu (toilet paper) ebitundu  60%, ne steel wire ayongezedwa n’ebitundu 10%.