Amawulire

Ekitongole ekiramuzi kyesamudde ebyayogedwa ku Bamwine

Ekitongole ekiramuzi kyesamudde ebyayogedwa ku Bamwine

Ivan Ssenabulya

October 19th, 2019

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekiramuzi kivudeyo ne kisambajja ebyafulumidde mu mawulire nti abasirikale abakuuma omulamuzi Yorokamu Bamwine bakubye amasasi abantu abateberezebwa okuba nti babadde balinya akagere omulamuzi ono

Kigambibwa nti bino byaliwo ku lunaku lwakusatu e Kamwokya kunjegoyego zekibuga Kampala

Amawulire galaga nti poliisi ye Kira yayimiriza emotoka egambibwa okuba nti yali egoberera omulamuzi Bamwine ne bakubako omu kubbo essasi eryamulumya ne bakwata na balala

Ngayogerako ne radio eno omwogezi wekitongole ekiramuzi Solomon Muyita ebyogerwa abijunguludde bwategezeza nti ku lunaku olwo omulamuzi  Bamwine na bakuumibe bali mu bitundu bya mambuka g’eggwanga era nasaba poliisi eyongere okunonyereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *