Amawulire

Ekisiibo kyabasiraamu kitandise

Ekisiibo kyabasiraamu kitandise

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abayisiraamu olwaleero batandise omwezi omutukuvu ogwa Ramadan nekisiibo.

Akolanga akulira ebya Sharia eranga ye mumyuka wa Mufti wa Uganda, ku kitebbe kyobusiraamu ku kasozi Kampala mukadde Sheikh Muhammed Ali Waiswa agambye nti olwamateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe, tewaganda kuberawo ssalwa za Taraweeh okujjako ssinga, pulezidenti Museveni anavaayo nabaako enkyukakyuka zakola mu biragiro bye.

Akunze absiraamu okusigala nga basiiba, wabula nga bawuliriza nokugoindera amateeka ga gavumenti.

Abasiraamu basabiddwa okugenda ku mizkiti namazzi gaabwe aga uzu, nebikozesebwa ebirala.

Okusiiba mu mwezi guno omutukuvu yeemu, ku mpagi zobusiraamu 5, abakriza zebatekeddwa okutukiriza.

Ekisiibo kyomulundi guno kyajidde mu biseera ebyekirwadde kya ssenyiga pomukambwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *