Amawulire

Ekisiibo kitandika olunnaku lwenkya

Ekisiibo kitandika olunnaku lwenkya

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akolanga akulira ebya Sharia ku kitebbe ky’obusiraamu, ku kasozi Kampala Mukadde, Sheikh Ramathan Ali Waiswa akawungeezi akayise akaksizza nti omwezi omutukuvu ogwa Ramathan N’okusiiba bitandika lunnaku lwankya.

Okusinziira ku Sheikh Waiswa, omwezi tegwalabise nga bwekyabadde kisubirwa.

Kati akubirizza abasiraamu okusiiba obulungi mu nnaku 30, atenga bagoberera amateeka nebiragiro ebyatekebwaow ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Kati agambye nti olwobudde bwa kafwi obwatekebwawo, esswala zokumakya zakukwatibwanga ku ssaawa 11 ezokumakya.

Eri abayisiraamu abanaana bagenda ku mizikiti bakubirizibwa okutwalanga amazzi gaabwe, byonna mu kugezaako okwerinda ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *