Amawulire

Ekisamba ekya yiika nga 5 kituuse e Buvuma

Ekisamba ekya yiika nga 5 kituuse e Buvuma

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya, Ekisamba ekiteberezebwa okuba nga kiwerako yiika nga 5 kirabiddwa nga kitambula okuyita mu bizinga bye Buvuma Kati kyolekedde Jinja.

Ekisamba kino kitambulira ku mpewo nga wetwogerera kiri wakati
w’ebizinga Muwama Nkata ne Bugaya, ngabamu bagamba nti kyavudde mu gwanga lya Tanzania.

Abavubi abasangiddwa ku nnyanja Nalubaale baliko byebatitegezezza.

Omubaka we Buvuma Robert Migadde agambye nti akisamba kino kinene okusinga ebirala ebibadde bitera okulabibwa.

Kati agambye nti gavumenti egwana okukola ekyamangu, okusanyawo ekisamba kino kubanga kyandikosa emirimu gy’okumazzi.