Amawulire

Ekisaawe kye Namboole tekirina kyapa

Ekisaawe kye Namboole tekirina kyapa

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah

Eyali omubalirizi wa gavumenti Charles Okolongo ategezezza akakiiko akatekebwawo, omukulembeze we gwanga okunonyereza ku kiki ekivaako mivuyo gye ttaka nti abaali abasenze ku ttaka lyekisaawe e Nambole bonna baliyirirwa mu 1999.

Okolongo owemyaka 69 mu biseera ebyo yeyali akolanga omubalirizi wa gavumenti, alabiseeko eri akakiiko kano akakubirizibwa omulamuzi Catherine Bamugemeire.

Olunnaku olwe ggulo akakiiko kaakitegeddeko okuva mu baddukanya ekisaawe kya Mandela National stadium nti okumala emyaka 8, akakiiko ke ttaka mu gwanga aka Uganda Land commission tekafuddeyo okukyusa ekyappa kye ttaka lino eriweza yiika 120, okudda mu mannya gekisaawe.

Akulira ekisaawe Jamir Ssewanyana Mpagi yanyonyodde nti gavumenti mu 1989 yafuna ettaka lino okutumbula ebyemizannyo.

Ono yategezezza nti olwobutaba na biwandiiko, bakozesaako kitundu ku ttaka nga kati ettaka erisigadde yiika nga 60 zesenzebwako abantu kati abali mu 300.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *