Amawulire

Ekanisa erangiridde 2019 ng’omwaka gw’abaana

Ekanisa erangiridde 2019 ng’omwaka gw’abaana

Ivan Ssenabulya

December 14th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Ekanisa ya Uganda ewaddeyo omwaka ogujja 2019 ng’omwaka gw’abaana mu Uganda wonna.

Ekanisa yalangirira emyaka 3 okuva mu 2017 okutukira ddala 2019 ng’emyaka egy’okunyweza amaka, okudda ku nonono mu katonda.

Kati bwabadde awaayo obubaka bwe obwa sekukulu, sabalabirizi we kanisa ya Uganda Stanley Ntagali agambye nti kino kisimiddwako amannyo, kubanga amaka mangi gasasise, olwo ebiseera by’abaana eby’omumaaso nebisigala mu lusuubo.

Mu bigenda okukolebwa kuliko okuteeka obubaka obubudabulula abaana mu bisomesebwa mu makanisa nebiralal bingi.