Amawulire

Egypt efunye pulezident omuggya

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

Misirui

Omulamuzi omukulu owa kkooti etaputa ssemateeka mu ggwanga lya Egypt, Adli Mansour, alayiziddwa  ng’omukulembeze ow’ekiseera.

Kino kiddiridde amaggye okumaamulako abadde akulira eggwanga eryo Mohammed Morsi.

Akulira amaggye Gen Abdul Fattah al-Sisi alangiridde nga Morsi bwamaamuddwa mu buyinza.

Morsi kino yakiyise kumuwamba nga kikolebwa abajaasi.

Gen Sisi said Mr Morsi, ye mukul;embeze wa Egypt eyasoose okulondebwa abantu kyokka bagamba nti alemereddwa okuggonjoola ebizibu byabwe.

Okumuwamba, kiddiridde abantu okwekalakaasa nga baagala ave mu buyinza.

Bagamba nti abadde tafa ku biruma ggwanga ng’afa ku bya kibiina kye kyokka eky’abasiraamu ekyaMuslim Brotherhood.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *