Amawulire

Eggwanika ly’emirambo e Mulago lyesisiwaza

Ali Mivule

October 7th, 2013

No comments

Mulago mortuary

Ekiri mu ggwanika ly’emirambo mu ddwaliro e Mulago kibi nnyo.

Ekisu kyekyaniriza agendayo, ebyuuma ebinyogoza tebiriiwo, ebibaafu omunaazibwa abafu byatalagga dda ,abakozi abakola ku mirambo gino bafuna emitwalo 20 ate akulira eggwanika afuna emitwalo 35.

Eggwanika lyenyini terimala ng’abafu bapakirabapakire.

Ab’eddwaliro lye Mulago bagamba nti emirambo egireetebwa KCCA ne Poliisi gyegisinga okuttattana embeera nga mingi tegiriiko bantu.

Dr Baterena Byarugaba agamba nti eggwanika lya KCCa liri mu kuddabirizibwa ng’emirambo gyonna gitwalibwa waabwe.

Bino byonna bizuuliddwa ababaka ba palamenti n’ababaka ba palamenti abalambudde eggwanika lino olwaleero

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *