Amawulire

Eddagala lya Covid effu eryakubwa abantu 800 temwalimu Butwa

Eddagala lya Covid effu eryakubwa abantu 800 temwalimu Butwa

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2021

No comments

Bya Rita Kemigisa

Ab’obuyinza mu maka g’omukulembeze w’eggwnaga bavudeyo ne bategeeza nga eddagala effu eryakubwa abantu nga 800 okubagema ekirwadde kya covid-19 bweritaliimu kirungo kya butwa.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire director mu maka ga pulezidenti avunanyizibwa ku kulondoola ebyobulamu Dr Warren Naamara agambye nti okusinzira ku byavudde mu kwekebejja okwakolebwa ekitongole kye byeddagala ki National Drug Authority, eddagala lino okusinga lyalimu mazzi ate nga nga gano si mabi eri omuntu

Eddagala lino erigambibwa okuba effu lyagibwa mu bitundu bye ggombolola ye Nakawa mu mwezi oguwedde era abasawo babiri abaalina baagi ze kitongole kya KCCA ne bakwatibwa ne stamp zeddwaliro lya Kiswa Health Centre IV.

Amaka gomukulembeze weggwanga gategezeza nti abantu 800 okuva mu kampuni 11 bebakubibwa eddagala lino.

Era ngeyali emabega wokusasanya eddagala lino ye Dr Francis Baguma nga mu kiseera kino aliira kunsiko.