Amawulire

Eddagala ery’okubiri erigema COVID-19 lituuse

Eddagala ery’okubiri erigema COVID-19 lituuse

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Uganda emisana ga leero, eyongedde nefuna edddagala ddala doozi emitwalo 10 erigema ssenyiga omukambwe Covid-19 okuva mu Astra-Zeneca nga lijidde mu ntekateka yobuyambi okuva mu gwanga lya Buyindi.

Kati omugatte Uganda yakafuna eddagala doozi emitwalo 96 mu 4,000 nga kinajjukirwa ku lunnaku Lwokutaano eddagala eryasooka lyatuuka mu gwanga.

Bwabadde akwasibwa eddagala lino ku kisaawe Entebbe, minisita webyobulamu Dr Ruth Aceng asabye abantu bebatadde ku mwanjo abagenda okusooka okugemebwa okuli abasawo, bajumbire okugema okugenda okutandika ku wiiki ejja.

Eddagala lino litukidde ku ku nnyomyi ya Emirates, emisana ga leero essaawa nga 2 ne dakiika 55.

Olunnaku lwenkya minisitule yakutoingoza okugema.