Amawulire

Eby’okwerinda ku masinzizo

Ali Mivule

October 29th, 2013

No comments

Kaihura again

Poliisi esabye abakulembeze ba kkanisa okukaliga eby’okwerinda ku miryango gyaabwe okutangira abatujju abayinza okwefuula abasabi

Kino kivudde eri ssenkaggale wa poliisi  gen Kale Kaihura amaze okulagira nti ebifo byonna eby’olukale omuli ne kkanisa zissibweemu eby’okwerinda ebikakali.

Kino abakulira poliisi ezitali zimu baatandise dda okukissa mu nkola nga mu bitundu bye Nateete, amasinzizo gonna galagiddwa okuwereeza abantu musanvu abagenda okukolagana nga ne poliisi okwaaza abantu

Akulira poliisi ye Nateete John Mwawule agamba waliwo n’amateeka agasindikiddwa eri eri bannanyini masinzizo gonna ku by’okwerinda

Gavumenti ya America yavaayo dda n’erabula Uganda ng’abatujju bwebatatudde nga bandirumba eggwanga mu ngeri yenyini gyebalumba Kenya

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *