Amawulire

Ebyokwerinda binywezeddwa muzi paaka olw’obungi bwabantu abakungaanye

Ebyokwerinda binywezeddwa muzi paaka olw’obungi bwabantu abakungaanye

Ivan Ssenabulya

June 8th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ebyokwerinda binywezeddwa ku paaka za baasi ezenjawulo, oluvanyuma lwabanatu mu bungi abakungaanye, nga bagala okutambula okudda mu byalo byabwe.

Abantu abamu basuze mu paaka zino, oluvanyuma lwentambula okubula atenga nebisale byalinnye.

Kino kyadiridde omukulembeze we’gwanga okuggala amasomero n’entambula eyolukale, okuva nga 10 June tewali bajja kukirizbwa okusala okuva mu disitulikiti emu okudda mu ndala, ngebimu ku biragiro ebyatekeddwawo okutangira okusasana kwa ssenyiga omukambwe.

Kati akulira Namayiba Bus Terminal Nelson Ssekandi agambye nti abasabaze babasukiriddeko, nga kizbuwazza nentekateeka gybabadde bakoze eyokugoberera amateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Okuviira ddala olunnaku lweggulo, ebisale byalinnye 100%, nga kino aba baasi baakitadde ku bbeyi yamafuta atenga bwebatwala nabasabaze mu byalo mmotoka zikomawo nkalu tewali bakomawo.

Okugeza abagenda mu disitulikiti ye Ibanda basasaula emitwalo 10 okuva ku mitwalo 5 gyebabadde basasaula.

Abadde e Kasese, nabo basasula 10 okuva ku 5 zebabaddenga basasaula.