Amawulire

Eby’abasomesa tebinnaba kutereera

Ali Mivule

September 17th, 2013

No comments

Jessica Alupo

Abasomesa abeekalakaasa gavumenti ebatuunulidde n’eriiso ejjojji.

Minisitule ey’ebyenjigiriza  egamba nti etandise okwwebuuza ku muwi w’amagezi aowa gavumenti ku ky’abasomesa abagaanye okulinnya mu bibiina.

Minisita akola ku byenjigiriza, Jessica Alupo agamba nti bakuddamu okuyisa mu tteeka elikwata ku nneyisa y’abasomesa okulaba oba obutasomesa okumala ennaku eziwera tekitegeeza kwebuza ku mulimu.

Alupo agamba nti okusinziira ku mateeka agafuga abasomesa, omuntu talina kubula ku mulimu kusukka nnaku 14 nga talina gwategeezezza mu butongole.

Alupo agamba nti byebateesako n’abasomesa mu mwaka gwa 2011, bisobola okukyusibwa okusinziira ku kisinga omugaso mu kadde ako.

Wabula ate minisita asabye abakulembeze ku mitendera gya wansi okwogereza abasomesa okulaba nti baddamu okusomesa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *