Amawulire

Ebya siniya six bifulumye

Ali Mivule

February 26th, 2013

No comments

results out

Ebigezo by’abayizi abasoba mu bina (400) bikwatiddwa.

Bano kigambibwa okuba nga bakoppye n’okubba ebigezo.

Amasomero agakoseddwa mulimu Naggalama Islamic,Sharing youth center,Valley SS Bushenyi, Lugogo hall, n’amalala

Minister akola ku byenjigiriza Jessica Alupo agambye nti amasomero agakoseddwa gakuweebwa akadde okwewozaako .

Ono agamba nti abakungu mu ministry bakusisinkana olunaku lw’enkya okutandika okunonyereza engeri abayizi gyebabbamu ebigezo yadde nga buli kimu kikolebwa okubikuuma.

Abayizi ku luno baakoze bulungi okusingako omwaka gwa 2011.

Okuseeseetuka kwa  kitundu kimu ku kikumi nga mu mwaka guno abayizi bayise n’ebitundu 99.3 ku kikumi okuva ku bitundu 99.2 ku kikumi mu mwaka gwa 2011.

Abayizi bakoze bulungi amasomo ga History, Entereprenuership,Literature, Chemistry, Geography .

Wabula ate wabaddewo okusereera okudda wansi mu masomo ga Economics, CRE, Islamic, Maths , Agruculture .

Abawala bakoze bulungi mu masomo ga art ate abalenzi ne bayita bulungi mu science.

Ebisingawo mu mawulire ku 90.4 Dembe FM

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *