Amawulire

Ebya Paakayaadi bya mpuna

Ali Mivule

December 7th, 2013

No comments

Park yard market

Ab’omu katale ka Paaka ebyaabwe ssi byakuggwa kati.

Ng’amaloboozi ku butuufu bw’akatale kano gajja gavaayo, aba KCCA nabo benyini bakatankana

Omukungu mu KCCA Ndyamuba Ndahendekire agamba nti bakyasisinkana bonna bakikwatakako n’oluvanyuma baveeyo bategeeze webayimiridde

Akatale kano kazze kakwata omuliro era ng’aasuubuzi balumiriza nti waliwo abagaala okubajja ku ttaka lino nga babakikola

Mu ngeri yeemu era n’abaddukanya ekisaawe bategeeza nga bwebagw aku kiro kitwala omunaku nga kirabula abasuubuzi okusenguka

Aba KCCA mu kusooka bavaayo nebategeeza ntia katale kano kaliwo mu bukyaamu kyokka nga nabo bamala nebasirika

Abasuubuzi baweze dda nga bwebatagenda kukkiriza Muntu yenna kubasengula

Kkwo okuzzaawo emidaala egyekimpatiira kugenda mu maaso yadde ng’abasuubuzi bano bakkiriziganyizza nti bakulind aeby’okuzimbisa eby’omulembe okuva mu gavumenti mu kweube w’okuzimba akatale akagumu.