Amawulire

Ebya P7 bitandise

Ebya P7 bitandise

Ivan Ssenabulya

November 4th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye ne Juliet Nalwoga

Abayizi ebekyomusanvu, olwaleero bagenda kutandika ebigezo byabwe ebyakamalirizo ebyomwaka guno 2019.

Bino byebigezo ebyakamlirizo ebyomulundi ogwokubiri, ngebyasooka byali bya S4 era bikyagenda mu maaso.

Ssabawandiisi wekitongole kyebigezi mu gwanga ekya Uganda National Examinations Board Daniel Odongo atubuliidde nti abayizi emitwalo 69 nekitundu bebewnadiisa era bebasubirwa okutuula ebigezo bino, mu bifo omutwalo 1 mu 3000 okwetoloola egwanga.

Ku mulundi guno agambye nti waliwo enkyukakyuka, ngabayizi tebagenda kuwandiika mannya ga masomero gaabwe ku mpapula wabulanga baakuweebwa, zebayise random school codes, nga mu kino balubiridde okujjawo obwa kyekubiira, nga kigambibwa nti waliwo abagolola ebigezo ababaddenga bagolola obubi amosomero agamu.

Abayizi bagenda kutandika ne ssomo lyokubala amakya gano, olweggulo bakole essomo lyebyafaayo nembeera zabanatu ona SST, atenga olwenkya baakukola Science Nolungereza.

Mungeri yeemu ekitongole kyebigezo kirabudde abayizi abazadde nabalala bonna, obutalimbibwa abantu abakyamu nti babaguza empapula.

Kino bagamba nti kikyamu era kijja kuvirako abayizi okubugutana, balemererwe nokukola ebyabasomesebwa, songa nempapula zebabaguza ssi zentuufu.

Olunnaku lwe ggulo UNEB nga bali wamu ne poliisi baliko abantu 6 bebaleze egwanga, abagambibwa nti bbaddenga batunda empapula zebigezo mu bitundu bye Mubende, Namungona, Mukono, Nsangi, Wakiso, Masaka, Kireka nawalala.

Babadde bazitunda ku nsimbiu waati wemitwalo 40 okutukira ddala ku bukadde 10.

Omumyuka womwogezi wa poliisi mu gwanga Polly Namaye alabudde avabtu bonna obutalimbibwa.