Amawulire

Ebya Nebanda bya mpuna

Ali Mivule

October 17th, 2013

No comments

Kalungi shocks court

Agambibwa okuba nti yeeyali muganzi w’omubaka Celina Nebanda nga ye Adam Kalungi awunikirizza kooti e Makindye bw’ategeezezza nga bweyasuubizibwa obuwanana bw’ensimbi okukkiriza nti yeeyatta muganzi we

Kalungi asoose kwegaana b’avunaanibwa nabo ng’agamba nti tabamanyi era bamulagira akkirize nti abamanyi kyokka nga yali tabalabangako.

Ono agamba nti nga bamukwatidde e Mombasa, abapoliisi ba Uganda bamulagira okukkiriza nti baalinga banywa enjaga ne Nebanda kyokka nga yakkiriza mu kutya naye nga taginywa ngako.

Ono obwedda ayogera nga bw’alumiriza omuwaabi wa gavumenti nti akimanyi awulira bubi kubanga ayogedde amazima agambye nti akikoze ku lw’omugenzi.

Ono asuubizza nga byonna bw’agenda okubyogera kakube kufa wakuyimirira ku mazima

Abadde mu maaso g’omulamuzi Esther Nambayo

Kalungi avunaanibwa gwa kutta Celina Nebanda mubutanwa