Amawulire

Ebula ennaku 8 enyonyi ze gwanga zituuke

Ebula ennaku 8 enyonyi ze gwanga zituuke

Ivan Ssenabulya

April 15th, 2019

No comments

Bya Kyeyune Moses

Kati ebula ennaku 8 zokka enyonyi 2 kika kya CRJ900 Bombardier, okutonya mu gwanga ku kisaawe Entebbe wakati mu ntekateeka zokuzukusa kampuni ye nyonyi eye gwanga, eya Uganda Airline.

Kampuni eno yali yagwa emyaka nga 20 ejiyise.

Akibinja kyabakulu mu gavumenti nga bakulembeddwamu miista webyentambula Eng. Monica Azuba Ntege kati bataka mu Quebec mu Canada gyebagenze okukima enyinyi zino, oluvanyuma lwobuguzi okubanga bwagwa dda.

Enyonyi esooka yasubizibwa okutuuka kuno ku ssaawa 9 pgwolwogulo, nga 23 omowezi guno.

Kawefube obo alaubiridde okutumbula ebyobusubuzi nebyobulamuzi.

Mungeri yeemu Capt. Michael Etiang, eyali akulira eyokutendeka ababuusa enyonyi mu kampuni ya Rwanda Air, ngagenda okukulira ababuusa enyinyi za Uganda.

Tukitegeddeko nti Etiang agenda kwegatta ku bakozi abalala, nobumanyirivu obwemyaka 20.