Amawulire

Ebiragiro ku bibuga ebigya biyisiddwa

Ebiragiro ku bibuga ebigya biyisiddwa

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2020

No comments

Bya Benjamin Jumbe, Minisitule evunanyizibwa ku gavt ezebitundu efulumiza ebiragiro ebinagobererwa mu bibuga ebijja 7 ebyatondebwawo ebitandika okukola olunaku lwenkya.

Kino kigenderedde kumalawo mbeera ya kusika muguwa ebaddewo eri abakulembeze be bitundu kwani arina okukulembera ebibuga bino

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, minisita avunanyizibwa ku gavumenti ezebitundu, Raphael Magyezi agambye nti okutuusa ng’okulonda kwa 2021 kuwedde ba-meeya ba municipaali enkadde bebagenda okugira nga bakulembera ebibuga ebijja

Kati meeya wakwelondera omumyukawe na bakulembeze abalala 3 ku lukiiko olufuzi

Ebibuga ebitandika okukola olunaku lwenkya kuliko Arua Fortportal, Gulu, Jinja , Mbarara, Mbale ne Masaka