Amawulire

Ebipande bya Amama Mbabazi bitimbuluddwaayo

Ali Mivule

November 23rd, 2015

No comments

Obunkenke bweyongedde mu tawuni ya Arua Amama Mbabazi gy’alina iokukuba olukungaana lwe olwaleero nga awenja akalulu akanamutuusa ku bukulembeze bw’eggwanga.

 

Kino kiddiridde abantu abatanategerekeka okugenda nga batimbulayo ebipande bya Mbabazi akawungezi akayise.

 

Era waliwo ebigambibwa nti ekisaawe kya Hill Top Grounds  Mbabazi  w’alina okukubira olukungaana lwe bwekyawereddwa abalokole okusumbirawo endiga.

Wabula bbo abagoba ba bodaboda abenjawulo bakunganidde ku masundiro g’amafuta agenjawulo okwefunira ku mafuta agobwerere okusobola okuwerekera Mbabazi gy’agenda okukuba olukungaana lwe.