Amawulire

Ebikofiira bikwangala

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

registration of bodaboda

Ebikoofira by’okumutwe bi Helmet KCCA z’ebadde ereese okugabira abagoba ba Bodaboda ,ekitongole ekikole ku mutindo gw’ebintu mu ggwanga kizizudde nti  tezitukaganye namutindo.

Akulira ekitongole kino Ben Manyindo agamba bakebedde helmet zino nebakizuula nti teziyinza kuyamba muvuzi wa pikipiki singa aba agudde ku kabenje.

Agamba nti kati KCCA erina eddimu ly’okuddamu okunoonya kampuni endala enabawa ebikofiira bino ebirala ebigumu era nga nabyo babasabye bisooke kukeberebwa nga tebinagulibwa.

Ebikofiira bino bibadde birina okuweebwa aba Bodaboda abawandiisibwa mu nteekateeka ya KCCA ey’okutereeza omulimu guno.