Amawulire

Ebigezo bya PLE byakufuluma ku Lwokutaano

Ebigezo bya PLE byakufuluma ku Lwokutaano

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisita webyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni agenda kufulumya ebyava mu bigezo bya PLE ebya 2020 ku lunnaku Lwokutaano wiiki eno.

Minisitule nekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examination Board baali batekeddswa okufuluma ebigezo bino omwezi oguwedde, wabula tebasobola oluvanyuma lwomuggalo gwa ssenyiga omukambwe ogwalangirirwa.

Omwogezi wa minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Patrick Muida agambye nti ku lunnaku Lwokusattu baakusisnkana minisita okuulaga engeri abayizi bwebakola, nga betegekera omukolo oguyinza okuberawo ku lunnaku Lwokutaano oba olwokuna.

Okusinziira ku Muida, minisitule etaddewo enkola zokwetangira obulwadde bwa ssenyiga omukambwe ezijja okugobererwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *