Amawulire

Ebiffo 92 byebinokoddwayo okutekebwamu amagye

Ebiffo 92 byebinokoddwayo okutekebwamu amagye

Ivan Ssenabulya

January 12th, 2021

No comments

Bya Musasi waffe

Abebitongole byokwerinda baliko ebifo 92 ebyomutawaana byeabeganda okutekamu amaanyi, omutera okubeera emivuyo nokulwagana mu kulonda.

Maj. Emmy Katabazi, amyuka akulira Internal Security Organization agambye nti ebifo 92 binokoddwayo okusinziira ku mawulire amekusifu gebafunye.

Maj Katabazi agambye nti okuva olwaleero, amagye gagenda kutekebwa mu bifo ebyo okutekawo obutebenkevu okwewala ebiyinza okudirirra.

Kati ono era alabudde neku kusasanya obulimba ku mikutu muyunga bantu, nokukuma omuliro mu bantu nti bakyewale.

Bino yabyogeredde mu kukubaganya ebirowoozo, okwabadde kutegekeddwa aba Inter-religious Council of Uganda okubadde kukwata ku kulonda kwa 2021.

Msgr Charles Kasibante, nga ye Vicar General wa Kampala awagidde okuberawo kwamagye mu bitundu ebyenjawulo, nti kyakuwa abantu eessuubi nti balina obukuumi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *