Amawulire

Ebibiina byóbubufuzi biwakanyiza ekya pulezidenti okuwera ekibiina kya DGF

Ebibiina byóbubufuzi biwakanyiza ekya pulezidenti okuwera ekibiina kya DGF

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ebibiina byóbubufuzi biwakanyiza ekya pulezidenti okuwera ekibiina ekibadde kiyamba bannakyewa wano mu ggwanga ekya Democracy governance Facility, DGF.

Bano bagamba nti ekikolwa kino kyakwongera okulinyirira enfuga eya democracia mu ggwanga lino.

Mu kwogerako ne radio eno senkagale wekibiina kya FDC, Patrick Amuriat agambye nti pulezidenti Museveni amanyi bulungi omulimo gwe kibiina kya DGF mu kuwanirira bannakyewa ne nsimbi okusobola okudukanya emirimu gyabwe obulungi songa ne bibiina byobufuzi bingi ebibadde bifuna ensimbi okuva mu kibiina kino.

Kati ngékyokuyimiriza emirimu gyakyo mu ggwanga kyakukoseza ddala enfuga eya democracia era nga nomuntu awagira democracia abadde talina kukola kikolwa kino.

Ye senkagale wekibiina kya JEEMA party Asuman Basalirwa, mwenyamivu olwe kyakoledwa wabula alumiriza nti waliwo ne bitongole bya gavt ebibadde biganyulwa mu kibiina kino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *