Amawulire

Ebbanja lye’gwanga ligenda kweyongera n’ebitundu 50%

Ebbanja lye’gwanga ligenda kweyongera n’ebitundu 50%

Ivan Ssenabulya

April 25th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Minisitule yebyensimbi eranagiridde nti ebbanja lye gwanga ligenda kukula 50% mu mwaka gwebyensimbi ogujja.

Kino bagamba nti kigenda kuva ku polojekiti gagadde, ezetaaga okwewolera, emirimu gisobole okutambula.

Okusinziira ku akulira ebyamabanja mu minisitule Moses Ziwa, ebbanja lye gwanga liri obwesedde 65 nobuwumbi 800 nga kuliko obwesedde 42 nobuwumbi 600 ensimbi enewole okuva ebweru, namabanja ag’omunda obwesedde 22 nobukadde 900.

Wabula okusinziira ku Ziwa, polojekiti z’okuzimba oluguudo lwe’gaali yomukka nomudiumu gwamafuta zezimu kwezo ezigenda okuwementa obwesedde nobwesedde bwensimbi.

Kati agambye nti tewali kyakusalawo gavumenti kijja kujetagisa okwewola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *